bnny 14, 30
c nny 15
d nny 16

Numbers 23:1-4

Okulagula kwa Balamu Okusooka

1 aBalamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” 2 bBalaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

3 cBalamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.

4 dKatonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”

Copyright information for LugEEEE